Jeremiah 2:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigere kyo tokireka kubeera kyereere, n'omumiro toguganya kukala. Naye ggwe wagamba nti: ‘Bya busa! Nze neeyagalira bagwira, era be nzija okugoberera.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokooya bigere byo, era tokaza mimiro gyo. Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere, sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala, nteekwa okubanoonya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tokooya bigere byo, era toleka mumiro gwo kulakasira ennyonta; naye n'oyogera nti, ‘Tewali ssuubi, kubanga njagadde bannamawanga, era be ndigoberera.’”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muleme kuggweereza ngatto zammwe, wadde okwekaza emimiro nga mudduka okugoberera balubaale! Naye mugamba nti: ‘Tetuyinza kweziyiza, kubanga twagadde balubaale abagwira, era be tujja okugoberera.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ziyiza ekigere kyo oleme okuba atalina ngatto, n'omumiro gwo oleme okulakasira ennyonta; naye n'oyogera nti Tewali ssuubi nedda; kubanga njagadde bannaggwanga, era be ndigoberera.