Jeremiah 2:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ng'omubbi bw'aswala ng'akwatiddwa, n'ennyumba ya Yisirayeli bw'eswadde, bo, bakabaka baabwe n'abakungu baabwe, bakabona baabwe n'abalanzi baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’omubbi bw’aswala ng’akwatiddwa, n’ennyumba ya Isirayiri bw’eswala bw’etyo, bakabaka baayo, n’abalangira baayo, ne bakabona baayo, era ne bannabbi baayo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Omubbi nga bw'akwatibwa ensonyi, nga bamukutte, n'ennyumba ya Isiraeri bw'ekwatibwa ensonyi bw'etyo; bo ne bakabaka baabwe n'abakulu baabwe ne bakabona ne bannabbi baabwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ng'omubbi bw'aswala nga bamukutte, nammwe Abayisirayeli mwenna bwe muliswala, awamu ne bakabaka bammwe, n'abakungu, ne bakabona bammwe, n'abalanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omubbi nga bw'akwatibwa ensonyi bw'alabika, n'ennyumba ya Isiraeri bw'ekwatibwa ensonyi bw'eti; bo ne bakabaka baabwe n'abakulu baabwe ne bakabona ne bannabbi baabwe;