Jeremiah 2:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagamba omuti nti: ‘Ggwe kitange,’ n'ejjinja nti: ‘Ggwe onzaala.’ Nze bankubye amabega, tebantunuulira; naye akabi bwe kabagwira, olwo nga bagamba nti: ‘Situka otuwonye!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bagamba emiti nti, “Ggwe kitange,” era n’ejjinja nti, “Ggwe wanzaala.” Bankubye amabega, naye bwe balaba ennaku bankaabirira nti, “Yimuka ojje otulokole.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abagamba ekikonge nti, ‘Ggwe kitange,’ n'ejjinja nti, ‘Ggwe onzaala.’ Kubanga bankubye amabega so si maaso gaabwe, naye mu biro mwe balirabira ennaku balyogera nti, ‘Golokoka otulokole.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugamba ekikonge nti: ‘Ggwe kitaffe,’ n'ejjinja nti: ‘Ggwe nnyaffe.’ Munkubye amabega gammwe, ne mutantunuulira. Naye bwe mubeera mu buzibu, nga munsaba nti: ‘Jjangu otulokole.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abagamba ekikonge nti Ggwe kitange; n'ejjinja nti Ggwe onzaala: kubanga bankubye amabega so si maaso gaabwe: naye mu biro mwe balirabira ennaku balyogera nti Golokoka otulokole.