Jeremiah 2:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balubaale be mwekolera bali ludda wa? Basituke bakuwonye obanga basobola bw'oba mu kabi. Ndaba ebibuga byo bwe byenkana obungi, ne balubaale bo we benkana, Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale bakatonda be weekolera baluwa? Leka bajje, bwe baba basobola okukulokola mu biseera eby’emitawaana. Kubanga obungi bwa bakatonda bammwe bwenkanankana n’ebibuga byo ggwe Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bakatonda bo be weekoledde bali ludda wa? Bo bagolokoke oba nga bayinza okukulokola mu biro mw'olabira ennaku, kubanga ebibuga byo nga bwe byenkana, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, ggwe Yuda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale balubaale bammwe be mwekoledde bali ludda wa? Bwe mubeera mu buzibu, kale basituke, oba nga bayinza. Mmwe ab'omu Buyudaaya, mulina balubaale abenkana ebibuga byammwe obungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ba katonda bo be weekoledde bali ludda wa? bo bagolokoke oba nga bayinza okukulokola mu biro mw'olabira ennaku: kubanga ebibuga byo nga bwe byenkana, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, gwe Yuda.