Jeremiah 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yali mutukuvu eri Omukama; ebibala ebisooka eby'amakungula ge; bonna abaamukavvulanga bazzizza omusango, era akabi kaabajjira,’ ” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri wali mutukuvu wa Mukama, ebibala ebibereberye ebyamakungula ge; bonna abaakulyangako nga bazzizza omusango, akabi nga kabatuukako,’ ” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri, wali wange nzekka. Wali mutukuvu, ebibala ebibereberye eby'ebikungulwa byange; nga bonna abakulumya baba bazzizza omusango; era nga obubi bubatuukako, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli, wali wange nzekka. Wali mutukuvu, gwe nasooka okwefunira, nga buli akulumya aba azzizza musango, era ng'atuukibwako akabi. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri yali butukuvu eri Mukama, ebibala ebibereberye eby'oku kyengera kye: bonna abamulya baliyitibwa abazzizza omusango: obubi bulibatuukako, bw'ayogera Mukama.