Jeremiah 2:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nabonerereza bwereere abaana bammwe; tebalina kye baayiga; ekitala kyammwe kyasaanya abalanzi bammwe, ng'empologoma enkavvuzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana bammwe nababonereza naye nga bwerere, tebakkiriza kugololwa. Mmwe bennyini ne mwettira bannabbi bammwe ng’empologoma bw’etta.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Abaana bammwe newakubadde n'ababonereza, naye tebaganyizza kubuulirirwa; ekitala kyammwe mmwe kimazeewo bannabbi bammwe ng'empologoma ezikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nababonereza mmwe, naye tekyavaamu mugaso, kubanga temukkiriza kukangavvulwa. Mutemudde abalanzi bammwe, nga muli ng'empologoma ezikiriza abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana bammwe mbakubidde bwereere; tebaganyizza kubuulirirwa: ekitala kyammwe mmwe kimazeewo bannabbi bammwe ng'empologoma ezikiriza.