Jeremiah 2:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe ab'ezzadde lino, muwulire ekigambo ky'Omukama: Yisirayeli mmubeeredde ddungu, oba ensi ey'enzikiza ekutte? Lwaki abantu bange bagamba nti: ‘Ffe twebungeetera, tetukyajja gy'oli’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe ab’omulembe guno muwulirize ekigambo kya Katonda. Mbadde nga ddungu gye muli ng’ensi ejjudde ekizikiza eky’amaanyi? Kale lwaki abantu bange bagamba nti, “Tulina eddembe, tetukyadda gy’oli?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe ab'omu mirembe gino, mwetegereze ekigambo kya Mukama. N'abanga ddungu eri Isiraeri? Oba nsi ya kizikiza ekikutte? Abantu bange ekiboogeza ki nti, ‘Tuli ba ddembe; tetukyajja gy'oli nate?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe Abayisirayeli ab'omulembe guno, muwulire Nze Mukama kye ŋŋamba. Nali ddungu gye muli, oba nsi ekutte ekizikiza? Kale mmwe abantu bange, kiki ekiboogeza nti: ‘Tujja kwetaaya, tetukyadda gy'oli?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe ab'omu mirembe gino, mulabe ekigambo kya Mukama. Naabanga ddungu eri Isiraeri? oba nsi ya kizikiza ekikutte? abantu bange ekiboogeza ki nti Tutaaluuse; tetukyajja gy'oli nate?