Jeremiah 2:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwala embeerera ayinza okwerabira ebyokwewoomya, oba omugole ebyambalo by'obugole? Naye bo abantu bange banneerabira n'ennaku kati tezikyabalika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwala omuto ayinza okwerabira ebikomo, oba omugole okwerabira ekyambalo kye? Naye ng’ate abantu bange Bannerabidde!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuwala ayinza okwerabira eby'obuyonjo bye, oba omugole ebyambalo bye? Naye abantu bange banneerabidde, ennaku nnyingi ezitabalika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuwala ayinza okwerabira ebibye eby'okwewoomya? Oba omugole ebyambalo bye? Naye abantu bange banneerabidde ennaku nnyingi ezitabalika!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuwala ayinza okwerabira ebibye eby'obuyonjo, oba omugole ebyambalo bye? naye abantu bange banneerabidde ennaku nnyingi ezitabalika.