Jeremiah 2:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ku byambalo byammwe oli asangako enkulukuse z'omusaayi gw'abanaku abataliiko musango. Sso tewabasanga nga bamenya okuyingira. Newandibadde bwe gutyo bwe guli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Engoye zo zijjudde omusaayi gw’abaavu n’abatalina musango, awatali kugamba nti bakwatibwa nga babba. Ate nga wadde byonna biri bwe bityo
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ku birenge byo kusangiddwako omusaayi gw'abaavu abataliiko musango; era b'otokwata nga balina kye bamenya. Kyokka ku bino byonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyambalo byammwe biriko amabala g'omusaayi gw'abaavu abatalina musango, era be mutakwatidde mu kubba. “Newaakubadde ebyo byonna biri bwe bityo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku birenge byo kulabise omusaayi gw'emmeeme z'abaavu abataliiko musango: sigulabye mu kituli ekisimibwa wabula ku bino byonna.