Jeremiah 2:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ggwe wagamba nti: ‘Siriiko musango, awo nno obusungu bwe bwanvaako.’ Naye nno nzija kugukusalira, olw'okugamba nti: ‘Sikolanga kibi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ogamba nti, “Sirina musango, ddala takyanninako busungu!” Laba, ŋŋenda kukusalira omusango olw’okugamba nti, “Sirina kibi kye nkoze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era naye oyogera nti, ‘Siriiko musango; mazima obusungu bwa Mukama bukyuse okunvaako.’ Laba, ndiwoza naawe kubanga oyogera nti, ‘Ssoonoonanga.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era mugamba nti: ‘Tetuliiko musango. Ddala Mukama takyatulinako busungu.’ Naye Nze Mukama nja kubabonereza mmwe, kubanga mugamba nti temukolanga kibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye n'oyogera nti Siriiko musango; mazima obusungu bwe bukyuse okunvaako. Laba, ndiwoza naawe kubanga oyogera nti Soonoonanga.