Jeremiah 2:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'otangatanga nnyo! Ng'okyusakyusa amakubo go! Misiri ajja kukuswaza nga Assuri bwe yakukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki ogenda ng’okyusakyusa amakubo go! Misiri ejja kukuswaza nga Bwasuli bwe yakuswaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Otambuliratambulira ki ennyo bw'otyo okuwanyisa ekkubo lyo? Oliswazibwa Misiri, nga bwe waswazibwa Bwasuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Lwaki mukyukakyuka, ne mugoberera balubaale b'amawanga amalala? Misiri ajja kubaleka mu bbanga muswale, nga Assiriya bwe yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Otambuliratambulira ki ennyo bw'otyo okuwaayisa ekkubo lyo? era olikwatibwa ensonyi ne ku lwa Misiri, nga bwe wakwatibwa ensonyi ku lwa Bwasuli.