Jeremiah 2:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nayo olivaayo ng'emikono gikuli ku mutwe, kubanga Omukama asambazze abo be weesiga; togenda kubafunamu kirungi.” Balikomawo awali Katonda
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’eyo olivaayo ng’emikono ogyetisse ku mutwe, kubanga Mukama agaanye abo be weesiga; tagenda kukuyamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne gy'oli olivaayo nga weetisse emikono, kubanga Mukama agaanyi ebyo bye weesiga, so toliraba mukisa mu byo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ewuwe mulivaayo nga mwetisse emikono ku mitwe. Nze Mukama ŋŋaanyi abo be mwesiga, era temulibafunamu mukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne gy'ali olivaayo nga weetisse emikono: kubanga Mukama agaanyi ebyo bye weesiga, so toliraba mukisa mu byo.