Jeremiah 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebaabuuza nti: ‘Omukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri, eyatuyisa mu ddungu, mu nsi ey'ensenyi n'ebikonko, mu nsi enkalu n'enzikiza ekutte, mu nsi omutayita muntu, omutaali yasengamu?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa, mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tebeebuza nako nti, ‘Mukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey'amalungu n'obunnya, mu nsi ey'ennyonta n'ey'ekisiikirize eky'okufa, mu nsi omuntu yenna gyatayitamu, so n'omuntu yenna mw'atabeera?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebeebuuzanako nti: ‘Mukama ali ludda wa? Ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, n'atuyisa mu lukoola, ensi ey'amalungu n'obunnya, enkalu era ey'akabi, ensi eteyitikamu, era etebeeramu bantu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebayogera nti Mukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey'amalungu n'obunnya, mu nsi ey'ennyonta n'ey'ekisiikirize eky'okufa, mu nsi omuntu yenna gy'atayitamu, so n'omuntu yenna mw'atabeera?