Jeremiah 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona tebaabuuza nti: ‘Omukama aluwa?’ Abakuumi b'Etteeka tebaamanya; abakulembeze banjeemera; abalanzi ne balanga nga bajulira Babaali, ne bagoberera ekitaliimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona ne batabuuzaako nti, “ Mukama ali ludda wa?” Abo abakola ku mateeka tebammanya. Abakulembeze ne banjeemera. Bannabbi nga baweereza ku lwa Baali, ne bagoberera ebitagasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona tebeebuuza nti, Mukama ali ludda wa? N'abo abakuumi b'amateeka tebammanya; era n'abakungu ne bansobya, bannabbi ne boogera ku lwa Baali ne batambula nga bagoberera ebitagasa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona tebeebuuza nti: ‘Mukama ali ludda wa?’ Ne bannamateeka tebammanya. N'abakulembeze banjeemera, abalanzi ne balagula ku lwa Baali, ne bagoberera ebitaliiko kye bigasa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona tebayogera nti Mukama ali ludda wa? n'abo abatogaatoga amateeka tebammanya: era n'abakungu ne bansobya, bannabbi ne balagula ku lwa Baali ne batambula nga bagoberera ebitaliiko kye bigasa.