Jeremiah 20:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabona Pasukuru mutabani wa Yimmeri, omukulu w'Ekiggwa ky'Omukama, bwe yawulira Yeremiya ng'alanga ebintu ebyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pasukuli eyali kabona mutabani wa Immeri, eyali omukulu mu yeekaalu ya Mukama, yawulira nga Yeremiya awa obubaka buno,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Pasukuli kabona mutabani wa Immeri, eyali omwami omukulu ow'omu nnyumba ya Mukama, n'awulira Yeremiya ng'ayogera ebigambo ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabona Pasuhuuri, mutabani wa Yimmeri, eyali akulira abakuuma Essinzizo, bwe yawulira Yeremiya omulanzi ng'alangirira ebyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Pasukuli mutabani wa Immeri kabona, eyali omwami omukulu ow'omu nnyumba ya Mukama, n’awulira Yeremiya ng'alagula ebyo.