Jeremiah 20:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mpulira bangi boogera obwama: “Ntiisa ku njuyi zonna. Muwaabire, tumuwaabire.” Bonna mikwano gyange balinda bulinzi ngwe. “Osanga anaawubisibwa, olwo nga tumulina, nga tumuwoolererako eggwanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mpulira bangi nga beegeya nti, “Akabi kali enjuuyi zonna. Mumuloope. Leka naffe tumuloope.” Mikwano gyange bonna banninda ngwe, nga bagamba nti, “Oboolyawo anaasobya, tumugweko tuwoolere eggwanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mpulira obwama. Entiisa eri ku buli ludda! “Mu mwegaane! Muleke tumwegaane!” Bwe boogera mikwano gyange ennyo bonna, nga balindirira okugwa kwange. “Oboolyawo anaasendebwasendebwa, naffe tunaamuwangula, era tulimuwalanako eggwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mpulira nga bonna boogera obwama nti: “Buli wantu wabunye entiisa! Tumuloope mu b'obuyinza!” Ne mikwano gyange ennyo balindiridde kulaba bwe ngwa. Be bamu bagamba nti: “Singa asendebwasendebwa ne tumukwatiriza, ne tuwoolera eggwanga!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mpulidde okulyolyoma kw'abangi, entiisa enjuyi zonna. Muloope, naffe tunaamuloopa bwe boogera mikwano gyange ennyo bonna, bo abalabirira okuwenyera kwange; mpozzi anaasendebwasendebwa, naffe tunaamuwangula, era tulimuwalanako eggwanga: