Jeremiah 20:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama ali nange ng'omuzira nnamige; awo nno abanjigganya balisinzittuka, tebalisobola. Baliswala nnyo kubanga tebaliwangula; ensonyi zaabwe za lubeerera, teziryerabirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama ali nange ng’omulwanyi ow’amaanyi ow’entiisa, kale abanjigganya kyebaliva bagwa ne bataddayo kuyimirira. Baakulemererwa era baswalire ddala n’okuswala kwabwe tekulyerabirwa emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama ali nange ng'ow'amaanyi ow'entiisa; abanjigganya kyebaliva beesittala so tebaliwangula, baliswala nnyo, kubanga tebakoze bya magezi, balikwatibwa ensonyi ezitaliggwaawo eziteerabirwenga ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama ali wamu nange ye muzira nnantalumbwa, era abanjigganya bajja kulumwa. Baliswala nnyo, kubanga tebayinza kuwangula. Balikwatibwa ensonyi ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama ali nange ng'ow'amaanyi ow'entiisa: abanjigganya kyebaliva beesittala so tebaliwangula: baliswala nnyo, kubanga tebakoze bya magezi, balikwatibwa ensonyi ezitaliggwaawo eziteerabirwenga ennaku zonna.