Jeremiah 20:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama w'Amagye, ggwe ageza omutuukirivu, eyeekenneenya omutima n'emmeeme, mpa ndabe bw'owoolera eggwanga ku bo; kubanga ggwe nnyanjulidde ensonga yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye oyo agezesa abatuukirivu, alaba ebiri munda mu mitima era n’ebirowoozo, kale leka ndabe bw’obawoolererako eggwanga, kubanga ensonga zange nzitadde mu mikono gyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye, ayi Mukama w'eggye, akema omutuukirivu, alaba emmeeme ey'omunda, nsaba ndabe eggwanga lyo ly'oliwalana ku bo; kubanga gyoli gye ntadde ensonga yange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe, ayi Mukama Nnannyinimagye, ogeza abantu mu bwenkanya. Olaba bye balowooza mu mitima gyabwe. Kale ndaga nga bw'owoolera eggwanga, kubanga ensonga zange nzikwasizza ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye, ai Mukama w'eggye, akema omutuukirivu, alaba emmeeme ey'omunda, ndabe eggwanga lyo ly'oliwalana ku bo; kubanga nkubikkulidde ensonga yange.