Jeremiah 20:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja oyo abeere ng'ebibuga Omukama by'asindula nga talina kisa. Awulire emiranga mu makya, n'enduulu z'olutalo mu ttuntu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja oyo abeere ng’ebibuga Mukama bye yamenyaamenya awatali kusaasira kwonna. Okukaaba kuwulirwe ku makya, ne nduulu z’abalwanyi mu ttuntu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omusajja oyo abeere ng'ebibuga Mukama bye yasuula nga tasaasidde; awulire okukaaba enkya, n'okwogerera waggulu mu ttuntu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuntu oyo abe ng'ebibuga Mukama bye yazikiriza nga tasaasira. Awulire emiranga ku makya, n'enduulu z'abaserikale mu ttuntu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omusajja oyo abeere ng'ebibuga Mukama bye yasuula n'ateenenya: awulire okukaaba enkya, n'okwogerera wa ggulu mu ttuntu;