Jeremiah 20:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu lubuto naviiramu ki? Kulaba nnaku na kubonaabona, n'ennaku zange kuzimala mu buswavu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lwaki nava mu lubuto okulaba emitawaana n’obuyinike era ennaku zange ne nzimala mu buswavu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naviira ki mu lubuto okulaba okutegana n'obuyinike, era n'okumala ennaku zange zonna mu nsonyi?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nazaalirwa ki? Okulaba ennaku n'okubonaabona, n'okufiira mu buswavu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naviira ki mu lubuto okulaba okutegana n'obuyinike, ennaku zange zimalibwewo olw'ensonyi?