Jeremiah 20:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ajja n'akuba Yeremiya omulanzi, n'amussa mu nvuba ku Mulyango ogw'Engulu ogwa Benyamiini ku Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’alagira Yeremiya akubibwe. N’asibibwa mu nvuba eyali mu mulyango ogw’ekyengulu ogwa Benyamini ku yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Pasukuli n'akuba Yeremiya nnabbi, n'amusiba mu nvuba eyali ku mulyango ogw'engulu ogwa Benyamini ogwali mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ajja n'alagira ne bamukuba era ne bamusiba mu nvuba, eyali ku mulyango ogw'engulu ogwa Benyamiini mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Pasukuli n'akuba Yeremiya nnabbi n'amusiba mu nvuba eyali mu mulyango ogw'engulu ogwa Benyamini ogwali mu nnyumba ya Mukama.