Jeremiah 20:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bwakya, Pasukuru n'aggya Yeremiya mu nvuba. Yeremiya n'amugamba nti: “Omukama takyakuyita Pasukuru, wabula 'Ntiisa ku Njuyi Zonna'.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku olwaddirira, nga Pasukuli amusumuludde mu nvuba, Yeremiya n’amugamba nti, “ Mukama takyakuyita Pasukuli, naye Magolumissabibu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka enkya, Pasukuli n'aggya Yeremiya mu nvuba. Awo Yeremiya n'amugamba nti, “ Mukama takyayita linnya lyo Pasukuli wabula akuyita Magolumissabibu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enkeera Pasuhuuri n'asumulula Yeremiya mu nvuba. Yeremiya n'amugamba nti: “Mukama takuyise linnya lyo Pasuhuuri, wabula akuyise Ntiisabuliwantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka enkya Pasukuli n'aggya Yeremiya mu nvuba. Awo Yeremiya n'amugamba nti Mukama takutuumye linnya lyo Pasukuli wabula Magolumissabibu.