Jeremiah 20:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama kino ky'agamba: ‘Ŋŋenda kukufuula ntiisa eri ggwe kennyini n'eri mikwano gyo; n'amaaso go oliraba nga basanjagibwa ekitala ky'abalabe baabwe. Ne Yuda yenna ŋŋenda kumuwaayo mu mikono gya kabaka w'e Babiloni, alitwala abantu e Babiloni, n'abatta n'ekitala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Laba, ndikufuula eky’entiisa, ekikangabwa, eri ggwe n’eri mikwano gyo bonna; era balifa ekitala ky’abalabe baabwe, n’amaaso go galikiraba, era Yuda yonna ndigiwaayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, alibatwala e Babulooni oba okubattisa ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndikufuula eky'entiisa eri ggwe kennyini n'eri mikwano gyo bonna. Baligwa n'ekitala eky'abalabe baabwe, n'amaaso go galikiraba, era ndiwaayo Yuda yenna mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alibatwala e Babbulooni nga basibe, era alibatta n'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: ‘Ndikufuula eky'entiisa eri ggwe wennyini, n'eri mikwano gyo, era oliraba bwe battibwa abalabe baabwe mu lutalo. Ndiwaayo Obuyudaaya bwonna mu mikono gya kabaka wa Babilooni. Abamu alibatwala mu nsi ye nga basibe, abalala alibattira mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikufuula eky'entiisa eri ggwe kennyini n'eri mikwano gyo bonna: era baligwa n'ekitala eky'abalabe baabwe, n'amaaso go galikiraba: era ndiwa Yuda yenna mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, naye alibatwala e Babulooni nga basibe, era alibatta n'ekitala.