Jeremiah 20:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugagga bwonna obw'omu kibuga kino n'ebirimu byonna, buli kya kufuna kyonna, n'enkuluze yonna eya bakabaka ba Yuda, ndibiwaayo mu mikono gy'abalabe baabwe. Balibizingako ng'omunyago ne babitwala mu Babiloni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndigabula obugagga bw’ekibuga kino bwonna obulimu, n’eby’omuwendo omungi era n’eby’obugagga byonna ebya bakabaka ba Yuda mu mukono gw’abalabe baabwe. Balibutwala babwetikke ng’omunyago mu Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate ndiwaayo obugagga bwonna obw'omu kibuga kino n'amagoba gaamu gonna n'ebintu byamu byonna eby'omuwendo omungi, weewaawo, ebintu byonna ebya bassekabaka ba Yuda ndibiwaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, abalibanyaga ne babakwata ne babatwala e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obugagga bwonna n'ebintu byonna eby'omuwendo mu kibuga kino, omuli n'ebya bakabaka ba Buyudaaya, ndibiwaayo ne binyagibwa abalabe, buli kimu bakitwale e Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ndiwa obugagga bwonna obw'omu kibuga kino n'amagoba gaamu gonna n'ebintu byamu byonna eby'omuwendo omungi, weewaawo, ebintu byonna ebya bassekabaka ba Yuda ndibiwa mu mukono gw'abalabe baabwe, abalibanyaga ne babakwata ne babatwala e Babulooni.