Jeremiah 20:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ggwe Pasukuru na bonna abali mu maka go, muligenda mu buwaŋŋanguse. Oligenda e Babiloni; eyo gy'olifiira ne bakuziika eyo, ggwe ne mikwano gyo bonna be wagambanga eby'obulimba ng'olanga.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ggwe Pasukuli, era n’abo bonna ab’omu nnyumba yo balitwalibwa mu busibe, e Babulooni. Eyo gy’olifiira era oziikibwe, ggwe ne mikwano gyo bonna b’otegeezezza obunnabbi obw’obulimba.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe, Pasukuli, n'abo bonna abali mu nnyumba yo baligenda mu busibe; era olituuka e Babbulooni, olifiira eyo, oliziikibwa eyo, ggwe ne mikwano gyo bonna be wagamba eby'obulimba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naawe Pasuhuuri, olikwatibwa n'otwalibwa e Babilooni ng'oli musibe n'ab'omu nnyumba yo bonna. Eyo gy'olifiira era gy'oliziikibwa, ggwe ne mikwano gyo bonna be walagulanga eby'obulimba.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe, Pasukuli, n'abo bonna abali mu nnyumba yo baligenda mu busibe: era olituuka e Babulooni, era olifiira eyo, era oliziikirwa eyo, ggwe ne mikwano gyo bonna be walagula eby'obulimba.