Jeremiah 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wansendasenda, ayi Mukama, nange ne nsendebwasendebwa; wansinza amaanyi n'ompangula. Nsekererwa olunaku lwonna; bonna banjerega.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, wannimba era n’ennimbibwa, wansinza amaanyi n’ompangula. Nvumibwa okuva ku makya okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, wannimba era nange ne nnimbibwa, onsinga amaanyi era ompangudde. Nfuuse ekisekererwa okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama wannimba ne nzikiriza! Onsinza amaanyi, era ompangudde. Nfuuse kisekererwa buli kadde, buli muntu ankudaalira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, wannimba nze ne nnimbibwa: onsinga nze amaanyi era owangudde: nfuuse ekisekererwa okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira.