Jeremiah 20:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli lwe njogera kubeera kuleekaana nga nnangirira: “Kunyaga! Kuzikiriza!” Ekigambo ky'Omukama kindeetedde kuvumibwa, Kinnyoomesa bunyoomesa olunaku lwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lwe njogera, ndeekaana ne nnangirira akatabanguko n’okuzikirira. Kale ekigambo kya Mukama kindeetera kuvumwa na kusekererwa buli lunaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli lwe njogera, njogerera waggulu nti, “Okunyaga n'okuzikiriza!” Kubanga ekigambo kya Mukama kifuuse gyendi ekivume era eky'okusekererwa okuzibya obudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lwe njogera, ndeekaana ne nnangirira nti “Okunyaga n'okuzikiriza bijja!” Obubaka bwo, ayi Mukama, bunvumisa, era bunsekereza buli kadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli lwe njogera, njogerera waggulu; njogerera waggulu nti Ekyejo n'okunyaga: kubanga ekigambo kya Mukama bakifuula ekivume gye ndi n'eky'okusekererwa okuzibya obudde.