Jeremiah 20:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe ŋŋamba nti: “Siimwogereko, sikyaddamu kwogera mu linnya lye,” mu mutima gwange mpuliramu ng'omuliro ogwaka, omuliro oguggaliddwa munda mu magumba gange. Nkooye okugugumiikiriza, mazima sikyasobola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe ŋŋamba nti, “Sijja kumwogerako oba okweyongera okwogera mu linnya lye,” ekigambo kye mu mutima gwange kiri ng’omuliro ogwaka, ogukwekeddwa mu magumba gange. Nkooye okukizibiikiriza era ddala sisobola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe njogera nti, “Siimwogereko, so sikyayogerera mu linnya lye, kale mu mutima gwange muba ng'omuli omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuguwanirira, era sisobola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe ŋŋamba nti “Mukama ka mmwerabire, ndekere awo n'okumwogerera,” obubaka bwo buba ng'omuliro ogubuubuukira mu nze. Nfuba okubuzibiikiriza, ne siyinza kubuziyiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe njogera nti Siimwogereko so sikyayogerera mu linnya lye, kale mu mutima gwange muba ng'omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza so siyinza kubeerera awo.