Jeremiah 21:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva ew'Omukama kabaka Zedekiya lwe yamutumira Pasukuru mutabani wa Malukiya ne kabona Zefaniya mutabani wa Maaseeya. Baamugamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya owa Yuda, bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ng'ayogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya, n'antumira Pasuhuuri mutabani wa Malukiya, ne Kabona Zefaniya mutabani wa Maaseya ng'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ng'ayogera nti