Jeremiah 21:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga kino mmaliridde kukikola kabi sso si kirungi, Omukama y'agamba. Kiriweebwayo mu mikono gya kabaka w'e Babiloni n'akyokya omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ntadde amaaso gange ku kibuga kino, okukireetako obubi so si bulungi, bw'ayogera Mukama, kirigabulwa mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alikyokya omuliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nsazeewo obutasaasira kibuga kino, wabula okukizikiriza. Kinaaweebwayo mu buyinza bwa kabaka wa Babilooni, n'akyokya omuliro. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ntadde amaaso gange ku kibuga kino okukireetako obubi so si bulungi, bw'ayogera Mukama: kirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, naye alikyokya omuliro.