Jeremiah 21:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe nnyumba ya Dawudi, Omukama kino ky'agamba: “ ‘Ku makya muwenga ennamula yammwe; gwe banyaze mumuwonye mu mikono gy'abamunyigiriza, sikulwa ng'obusungu bwange butumbuka ne bukoleera ng'omuliro ogutaliiko ayinza kuzikiriza, olw'okubeera ebikolwa byammwe ebibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ggwe ennyumba ya Dawudi, “ ‘kino Mukama ky’agamba: Musale emisango mu bwenkanya, mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza, obusungu bwange buleme kuvaayo bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze, nga tewakyali n’omu abuziyiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe ennyumba ya Dawudi,’ bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Musalenga emisango buli nkya, era muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi, ekiruyi kyange kireme okubuubuuka ng'omuliro ne kibookya ne wataba ayinza okukizikiza, olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mmwe bazzukulu ba Dawudi. Musalenga emisango buli lunaku. Mutaase oyo gwe bayiikiriza, obusungu bwange buleme kubuubuuka ng'omuliro, n'okubookya, olw'ebikolwa byammwe ebibi, ne wataba ayinza kubuziyiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe ennyumba ya Dawudi, bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mutuukirizenga emisango enkya, era muggyenga omunyago mu mukono gw'omujoozi, ekiruyi kyange kireme okutambula ng'omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza, olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.