Jeremiah 21:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkuli bukiika, ggwe asula mu kiwonvu, ggwe olwazi lw'oku museetwe, Omukama y'agamba; mmwe abagamba nti: “Ani alitulumba? Ani aliyingira amayumba gaffe?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba nkugguddeko olutalo, ggwe Yerusaalemi abeera waggulu w’ekiwonvu, ku lusozi olwagaagavu olw’ekyaziyazi, bw’ayogera Mukama, mmwe abagamba nti, “Ani ayinza okutulumba? Ani ayinza okuyingira mu nnyumba zaffe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Laba, ndi mulabe wo, ayi ggwe abeera mu kiwonvu n'awali olwazi olw'omu lusenyi, bw'ayogera Mukama; mmwe aboogera nti, ‘Ani aliserengeta okututabaala? Oba ani aliyingira mu nnyumba zaffe?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe Yerusaalemu, ogulumidde waggulu w'ebiwonvu, ng'olwazi olugulumivu mu lusenyi. Ogamba nti: ‘Tewali ayinza kukulumba n'okutuuka gy'oli.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndi mulabe wo, ai ggwe abeera mu kiwonvu n'awali olwazi olw'omu lusenyi, bw'ayogera Mukama; mmwe aboogera nti Ani aliserengeta okututabaala? oba ani aliyingira mu nnyumba zaffe?