Jeremiah 21:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibabonereza ng'ebikolwa byammwe bwe bisaanira, Omukama y'agamba; ndiyokya omuliro ebibira bye ogulisenkenya byonna ebibeetoolodde.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri, era ndikoleeza omuliro mu kibira kyammwe, gwokye byonna ebikyetoolodde,’ ” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibabonereza ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama, era ndikuma omuliro mu kibira kyakyo, era gulyokya byonna ebikyetoolodde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ndibonereza abakulimu olw'ebyo bye baakola. Nditeekera omuliro ku kibira kyo, ne gwokya byonna ebikyetoolodde. Nze Mukama, Nze njogedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ndibabonereza ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa byammwe, bw'ayogera Mukama: era ndikumira omuliro mu kibira kyakyo, era gulyokya byonna ebikyetoolodde.