Jeremiah 21:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Tubuulize ew'Omukama, kubanga Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni atutabadde. Oboolyawo Omukama anaatukolera ebimu ku byewuunyisa bye n'asobola okutuleka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nkwegayiridde, tubuulize eri Mukama; kubanga Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni atutabaala; mpozzi Mukama anaatukola ng'ebikolwa bye byonna eby'ekitalo bwe biri, era Nebukadduneeza anaatuvaako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nkwegayiridde, twogerereyo eri Mukama, kubanga Kabaka Nebukadunezzari atutabadde. Oboolyawo Mukama anaatukolera ekyamagero, Nebukadunezzari n'atuvaako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkwegayiridde, tubuulize eri Mukama; kubanga Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni atutabaala: mpozzi Mukama anaatukola ng'ebikolwa bye byonna eby'ekitalo bwe biri, atuveeko.