Jeremiah 21:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Omukama, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ŋŋenda kukyusa ebyokulwanyisa bye mukutte mu ngalo mbiboolekeze, ebyo bye mulumbisa kabaka w'e Babiloni n'Abakaludeya ababazingizza ebweru wa bbugwe. Nzija kubikuŋŋaanyiza mu kibuga kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti, Laba, ndizza emabega eby'okulwanyisa ebiri mu mikono gyammwe bye mulwanyisa ne kabaka w'e Babbulooni n'Abakaludaaya ababazingiza, abali ebweru wa bbugwe, era ndibakuŋŋaanyiza wakati mu kibuga kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wa Yisirayeli agamba nti: ‘Nja kuwangula eggye lyammwe erirwanyisa kabaka wa Babilooni n'eggye lye. Nja kukuŋŋaanyiza ebyokulwanyisa byammwe mu kibuga wakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndizza ennyuma ebyokulwanyisa ebiri mu mikono gyammwe bye mulwanyisa ne kabaka w'e Babulooni n'Abakaludaaya ababazingiza, abali ebweru wa bbugwe, era ndibakuŋŋaanyiza wakati mu kibuga kino.