Jeremiah 21:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo nga biwedde, Omukama y'agamba, Zedekiya kabaka wa Yuda, abaweereza be n'abantu be ab'omu kibuga kino kawumpuli, ekitala n'enjala be biriba bitalizza, ndibawaayo mu mikono gya Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni, ne mu mikono gy'abalabe baabwe ne mu gy'abo abanoonya obulamu bwabwe. Alibassa ekitala; talibasonyiwa yadde okubalaga ekisa oba obusaasizi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma, bw'ayogera Mukama ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abaddu be n'abantu, abo bonna mu kibuga kino, abaliwona kawumpuli n'ekitala n'enjala, mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni ne mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe; era alibatta n'obwogi bw'ekitala; talibasonyiwa so talibakwatirwa kisa so talibasaasira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluvannyuma ggwe Zeddeekiya n'abakungu bo, n'abantu bonna abaliwonawo mu lutalo, n'abaliwona enjala ne kawumpuli n'endwadde, ndireka ne muwambibwa Kabaka Nebukadunezzari, n'abalabe bammwe abaagala okubatta. Alibatta awatali kusonyiwa na kukwatirwa kisa, wadde okusaasira. Nze Mukama, Nze njogedde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma, bw'ayogera Mukama, ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abaddu be n'abantu, abo kawumpuli n'ekitala n'enjala be byafissaawo mu kibuga muno, mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni ne mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: era alibatta n'obwogi bw'ekitala; talibasonyiwa so talibakwatirwa kisa so talisaasira.