Jeremiah 21:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bano era bagambe nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Kati nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery'obulamu n'ekkubo ery'okufa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era ogambanga abantu bano nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery'obulamu n'ekkubo ery'okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba ntegeeze abantu nti: “Mulabe, Nze Mukama nteeka mu maaso gammwe, ekkubo erituusa mu bulamu, n'ekkubo erituusa mu kufa. Mulondeewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ogambanga abantu bano nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery'obulamu n'ekkubo ery'okufa.