Jeremiah 21:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli alisigala mu kibuga kino, alifa ekitala, enjala oba kawumpuli. Naye buli alikifuluma ne yeewaayo mu mikono gy'Abakaludeya ababazinze, alirama, aliwonya obulamu bwe ng'omunyago.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abeera mu kibuga muno alifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli; naye oyo akivaamu n'asenga Abakaludaaya abaabazingiza ye aliba omulamu, n'obulamu bwe buliba ng'omunyago gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli asigala mu kibuga, ajja kuttirwa mu lutalo, oba anaafa enjala, oba endwadde. Naye buli anaakivaamu, ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazinze, ye atattibwe. Obulamu bwe, bwe bunaaba ng'omunyago gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abeera mu kibuga muno alifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli: naye oyo avaamu n'asenga Abakaludaaya abaabazingiza ye aliba omulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali.