Jeremiah 22:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muleke kukaabira mufu, temumutemera miranga; wazira mukungubagire nnyo oyo agenze, kubanga si wa kudda; yennyini taliddamu kulaba nsi ya boobwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temukaabira kabaka afudde oba okumukungubagira, wabula mukaabire nnyo oyo omuwaŋŋanguse, kubanga taliddayo kulaba nsi ye nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temukaabira maziga oyo eyafa, so temumukungubagira; naye mumukaabire nnyo nnyini amaziga oyo agenda; kubanga takyadda nate so taliraba nsi y'ewaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Buyudaaya, temukaabira Kabaka Yosiya eyafa, era temumukungubagira, naye mukaabire nnyo mutabani we Yehoyahaazi, kubanga bamutwala mu buwaŋŋanguse, naye si wa kudda. Taliddamu kulaba nsi y'ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temukaabira maziga oyo eyafa, so temumukungubagira: naye mumukaabire nnyo nnyini amaziga oyo agenda; kubanga takyadda nate so taliraba nsi y'ewaabwe.