Jeremiah 22:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama kino ky'agamba ku Sallumu, mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, eyasikira kitaawe Yosiya ku bwakabaka, eyagenda okuva mu kifo kino: “Tagenda kudda wano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ku bya Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya kitaawe okufuga era eyagenda okuva mu kifo kino nti, “Takyadda nate wano;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebifa ku Yehoyahaazi, eyasikira kitaawe Yosiya ku bwakabaka bwa Buyudaaya, eyaggyibwa kuno, Mukama agamba nti: “Si wa kudda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama ebya Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya kitaawe okufuga, eyagenda okuva mu kifo kino, nti Takyakomangawo nate;