Jeremiah 22:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alifiira mu kifo gye baamuwaŋŋangusiriza; taliddayo kulaba nsi eno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mu kifo gye baamutwala nga musibe, eyo gy'alifiira, so taliddayo kulaba nsi eno nate.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe. Taliddayo kulaba ku nsi eno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mu kifo gye baamutwala nga musibe, omwo mwalifiira, so takyalaba nsi eno nate.