Jeremiah 22:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olowooza kikufuula kabaka okuba n'obungi bw'entolookyo? Kitaawo ye teyalyanga, teyanywanga? Yatusanga obutuufu n'obutuukirivu; byonna kyebyava bimugendera bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka? Kitaawo teyalina byakulya na byakunywa? Yakola ebituufu eby’obwenkanya. Noolwekyo byonna byamugendera bulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olowooza nti oli kabaka kubanga ovuganya mu mivule egisinga egyabalala? Kitaawo teyalyanga n'anywanga, n'akolanga eby'obwenkanya n'eby'obutuukirivu? Kale yakolanga ebyo n'aba bulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olowooza nti oliba kabaka kubanga ozimbisizza omuvule ogusinga ogw'abalala? Kitaawo yalyanga n'anywa, n'akola eby'obwenkanya, ebituufu, n'aba bulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olifuga kubanga oyagala okukiza banno emivule? kitaawo teyalyanga n'anywanga, n'akolanga eby'ensonga n'eby'obutuukirivu? kale n'aba bulungi.