Jeremiah 22:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamalanga ensonga z'omwavu n'omunaku, olwo byonna kwe kugenda obulungi. Okummanya, ekyo si kye kitegeeza?” Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu kale byonna ne bimugendera bulungi. Ekyo si kye kitegeeza okummanya?” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yasalanga omusango gw'omwavu n'eyeetaaga; kale n'aba bulungi. Okwo si kwe kwali okummanya? Bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emisango gy'abaavu n'abanaku yagisalanga bulungi, n'aba n'emirembe mu mutima. Okwo nno kwe kumanya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yasalanga omusango gw'omwavu n'eyeetaaga; kale n'aba bulungi. Si kwe kwali okummanya? bw'ayogera Mukama.