Jeremiah 22:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Sso ggwe amaaso n'omutima bikuli ku kukumpanya bintu, ku kuyiwa musaayi gutaliiko musango, ku kunyigiriza na bukambwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe biri ku magoba ag’obukuusa, ne ku kuyiwa omusaayi ogutaliiko musango ne ku kunyigiriza ne ku kunyaga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olina amaaso n'omutima nga bituukiriza kwegomba kwo kwokka, okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, n'okujooga, n'obukambwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe weemalira ku bibyo byokka. Otta abatalina musango, otulugunya abantu bo n'obukambwe. Mukama ye ayogedde ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye amaaso go n'omutima gwo bigoberera kwegomba kwo kwokka, n'okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango, n'okujooga, n'ekyejo okukigiranga.