Jeremiah 22:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno Omukama kino ky'agamba ku Yoyakimu, mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda: “Tebalimukungubagira nti: ‘Kitalo, muganda wange! Kitalo, mwannyinaze!’ Tebalimukungubagira nti: ‘Kitalo, mukama wange! Kitalo, oweekitiibwa!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti, “Tebalimukungubagira; ‘Kikafuuwe, mukama wange!’ Kikafuuwe, obugagga bwe!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama kyava ayogera ku bya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nti, “Tebalimukungubagira nga boogera nti, Woowe, muganda wange! Oba nti Woowe, mwannyinaze! tebalimukungubagira nga boogera nti, Woowe, mukama wange! oba nti, Woowe, kabaka waffe!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino Mukama by'ayogera ku Yehoyakiimu, mutabani wa Yosiya, kabaka wa Buyudaaya nti: “Tebalimukungubagira, wadde okugamba nti: ‘Nga kitalo sseruganda, nga kitalo mwannyinaze!’ Tebalimukubira biwoobe nti: ‘Woowe, mukama wange! Woowe, kabaka waffe!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama kyava ayogera bw'ati ebya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nti Tebalimukungubagira nga boogera nti Woowe, muganda wange! oba nti Woowe, mwannyinaze! tebalimukungubagira nga boogera nti Woowe, mukama wange oba nti Woowe, ekitiibwa kye!