Jeremiah 22:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ogambe nti: ‘Wulira ekigambo ky'Omukama, ggwe Kabaka wa Yuda atudde ku nnamulondo ya Dawudi, ggwe, abakungu bo n'abantu bo abayingirira mu miryango gino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
‘Wulira ekigambo kya Mukama, ayi kabaka wa Yuda atuula ku ntebe ya Dawudi, ggwe n'abaddu bo n'abantu bo abayingirira mu miryango gino.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ogambe nti: Ggwe kabaka wa Buyudaaya, muzzukulu wa Dawudi, wulira obubaka bwa Mukama, ggwe n'abakungu bo, n'abantu b'omu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oyogerere eyo ekigambo kino ogambe nti Wulira ekigambo kya Mukama, ai kabaka wa Yuda atuula ku ntebe ya Dawudi, ggwe n'abaddu bo n'abantu bo abayingirira mu miryango gino.