Jeremiah 22:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Linnya ku Lebanoni oleekaane; kaalaamya eddoboozi mu Basani; leekaanira ku Abarimu, kubanga baganzi bo bonna babetenteddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Genda mu Lebanooni okaabe, leka eddoboozi lyo liwulirwe mu Basani. Kaabira ku Abalimu, kubanga bonna ababadde ku ludda lwo bazikiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Linnya ku Lebanooni okaabe, era oyimuse eddoboozi lyo mu Basani; okaabe ng'oyima ku Abalimu; kubanga baganzi bo bonna bazikiridde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu Yerusaalemu, mulinnye ku Lebanooni muleekaane; mugende mu nsi y'e Basani muyimuse eddoboozi. Mukaabire ku nsozi z'e Mowaabu, kubanga mikwano gyammwe bonna bazikiriziddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Linnya ku Lebanooni okaabe oyimuse eddoboozi lyo mu Basani okaabe ng'oyima ku Abalimu; kubanga baganzi bo bonna bazikiridde.