Jeremiah 22:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakugambanga bwe wali mu ddembe, naye ggwe ng'owoza: ‘Sijja kuwuliriza.’ Eyo yali mpisa yo okuva mu buvubuka bwo; towuliriza ddoboozi lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga naye n’ogamba nti, ‘Sijja kuwuliriza!’ Bw’oti bw’obadde okuva mu buto bwo, togonderanga ku ddoboozi lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera naawe bwe wali ng'okyalaba omukisa; naye n'oyogera nti Siiwulire. Kubanga eyo ye yabanga empisa yo okuva mu buto bwo, obutagonderanga ddoboozi lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yayogera nammwe nga muli bulungi, ne mugaana okuwuliriza. Bwe mutyo bwe mwamanyiira okukolanga obulamu bwammwe bwonna, mwagaanira ddala okuwuliranga by'agamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nayogera naawe bwe wali ng'olaba omukisa; naye n'oyogera nti Siiwulire. Eyo ye yabanga empisa yo okuva mu buto bwo, obutagonderanga ddoboozi lyange.