Jeremiah 22:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe nno abasula mu Lebanoni, abakoleddwa ebisu mu nnyumba ez'entolookyo, muliwoloma mutya ng'obulumi bubatuukiridde, okulumwa ng'okw'omukazi azaala?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe abali mu Lebanooni, abesulira mu bizimbe eby’emivule, nga mulikaaba, ng’obulumi bubajjidde! Okulumwa ng’okw’omukazi alumwa okuzaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi ggwe abeera ku Lebanooni, akola ekisu kyo ku mivule, ng'oliba wa kusaasirwa nnyo, obulumi bwe bulikukwata, obubalagaze ng'obw'omukazi alumwa okuzaala!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwe abawulira emirembe mu miti gy'emivule gye mwaggya mu Lebanooni, muliba ba kusaasirwa nnyo. Obulumi bulibakwata, ne mubalagalwa ng'omukazi alumwa okuzaala!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai ggwe abeera ku Lebanooni, akola ekisu kyo ku mivule, ng'oliba wa kusaasirwa nnyo, obulumi bwe bulikukwata, obubalagaze ng'obw'omukazi alumwa okuzaala!