Jeremiah 22:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze nga ndi mulamu,” Omukama y'agamba, “Koniya, mutabani wa Yoyakimu, kabaka wa Yuda, ne bwe wandibadde empeta ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikunaanuddeko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, newakubadde ggwe Koniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda wali empeta ey'akabonero ku mukono gwange ogwa ddyo, naye ndikwegyako;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Nga bwe ndi omulamu, ggwe Koniya, mutabani wa Yehoyakiimu kabaka wa Buyudaaya, ne bwe wandibadde empeta eri ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikunaanuddeko
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, Koniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda newakubadde nga ye mpeta ey'akabonero ku mukono gwo ogwa ddyo, era nandikukwakuddeyo;